Ensuula 8
1
Kale mu bigambo bye tutumwire kino niikyo ekikolo: tulina kabona asinga obukulu, afaanana atyo, eyatyaime ku mukono omuliiro ogw'entebe ey'Obukulu obw'omu igulu,
2
omuweereza w'ebitukuvu, era ow'eweema ey'amazima, Mukama gye yasimbire, ti muntu.
3
Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa olw'omulimu ogw'okuwangayo ebirabo era ne sadaaka: kyekiva kimugwanira n'oyo okubba n'ekintu eky'okuwaayo.
4
Kale singa yabbaire ku nsi, teyandibbaire kabona n'akatono, nga waliwo abawaireyo ebirabo ng'amateeka bwe gali;
5
abaweereza eby'ekifaananyi n'ekisiikirize eky'ebyo eby'omu igulu, nga Musa bwe yabuuliirwe Katonda, bwe yabbaire ng'ayaba okukola eweema: kubanga atumula nti Tolemanga okukola byonabyona ng'ekyokuboneraku bwe kiri kye walagiibwe ku lusozi.
6
Naye atyanu aweweibwe okuweereza okusinga okuwooma, era nga bw'ali omubaka w'endagaanu esinga obusa, kubanga yalagaanyiziibwe olw'ebyasuubiziibwe ebisinga obusa.
7
Kuba endagaanu edi ey'oluberyeberye singa teyabbaireku kyo kunenyezebwa, tewandinoonyezeibwe ibbanga ery'ey'okubiri.
8
Kubanga bw'abanenya atumula nti Bona, enaku giiza, bw'atumula Mukama, Bwe ndiragaana endagaano enjaaka n'enyumba ya Isiraeri era n'ennyumba ya Yuda;
9
Ti ng'endagaanu gye nalagaanire na bazeiza baabwe Ku lunaku lwe nabakwaite ku mukono okubatoola mu nsi y'Emisiri: Kubanga abo tibagumiire mu ndagaano yange, Nzeena ne mbaleka okubabona, bw'atumula Mukama.
10
Kubanga eno niiyo ndagaanu gye ndiragaana n'enyumba ya Isiraeri Oluvanyuma lw'ennaku gidi, bw'atumula Mukama; Nditeeka amateeka gange mu magezi gaabwe, Era no ku myoyo gwabwe ndigawandiikaku; Nzeena naabbanga Katonda gye bali, Boona babbanga bantu gye ndi:
11
So buli muntu tebalyegeresya mwinaye, Na buli muntu mugande, ng'atumula nti Manya Mukama: Kubanga bonabona balimanya, Okuva ku mutomuto okutuuka ku mukulu mu ibo.
12
Kubanga ndisaasira obutali butuukirivu bwabwe, N'ebibbiibi byabwe tindibiijukira ate.
13
Bw'atumula nti Endagaanu enjaaka ey'oluberyeberye abba agikairiyirye. Naye ekikulu era ekikairiwa kiri kumpi n'okuwaawo.