Ensuula 5

1 Kubanga buli kabona asinga obukulu, bw'atoolebwa mu bantu, ateekebwawo ku bwa bantu mu bigambo ebiri eri Katonda alyoke awengayo ebirabo era ne ssaddaaka olw'ebibbiibi: 2 ayinza okukwata empola abatamaite n'abakyamire, kubanga era yeena mweene yeetooloirwe obunafu; 3 era olw'obwo kimugwanira nga ku lw'abantu, era kityo ku lulwe mweene, okuwangayo olw'ebibbiibi. 4 So omuntu yenayena teyeetwalira yenka kitiibwa ekyo, wabula ng'ayeteibwe Katonda, era nga Alooni. 5 Era atyo Kristo teyeegulumizirye yenka okufuuka kabona asinga obukulu, wabula oyo eyamukobere nti Iwe oli Mwana wange, Atyanu nkuzaire iwe: 6 era nga bw'atumula awandi nti Iwe oli kabona emirembe gyonagyona ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri 7 Oyo mu naku gye yabbangamu mu mubiri gwe, bwe yawaireyo okwegayirira n'okusaba eri oyo eyasoboire okumulokola mu kufa n'okukunga einu n'amaliga, era bwe yawuliirwe olw'okutya kwe Katonda, 8 waire nga Mwana, yeena yayegere okugonda olw'ebyo bye yaboineboine: 9 awo bwe yamalire okutuukirizibwa, n'afuuka ensonga y'obulokozi obutawaawo eri abo bonabona abamuwulira; 10 Katonda gwe yayetere kabona asinga obukulu ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri. 11 Gwe tulinaku ebigambo ebingi okwogera era ebizibu okutegeeza, kubanga mufuukire baigavu b'amatu. 12 Kubanga bwe kibagwaniire okubbanga abegeresya olw'ebiseera ebyabitire, mwetaaga ate omuntu okubegeresya ebisookerwaku eby'oluberyeberye eby'ebigambo bya Katonda; era mufukire abeetaaga amata, so ti mere ngumu. 13 Kubanga buli anywa amata nga akaali kumanya kigambo ky'obutuukirivu; kubanga mwana mutomuto. 14 Naye emere enfumu ya bakulu, abalina amagezi agegeresebwa olw'okugakozesia okwa wulanga obusa n'obubbiibi.