1
Awo olwatuukire ku lunaku olw'okusatu Eseza n'avaala ebivaalo bye ebya kadulubaale, n'ayemerera mu luya olw'omukati olw'ennyumba ya kabaka, okwolekera enyumba ya kabaka: kabaka n'atyama ku ntebe ye ey'obwakabaka mu nyumba ya kabaka okwolekera omulyango gw'enyumba.
2
Awo olwatuukire kabaka bwe yaboine Eseza kadulubaale ng'ayemereire mu luya, kale n'aganja mu maiso ge: kabaka n'agololera Eseza omwigo ogwa zaabu ogwabbaire mu mukono gwe. Awo Eseza n'asembera n'akwata ku musa gw'omwigo.
3
Awo kabaka kaisi n'amukoba nti Otaka ki, kadulubaale Eseza? era kiriwa kye weegayirira? wakiweebwa ne bwe kyabba ekitundu ky'obwakabaka.
4
Awo Eseza n'atumula nti Kabaka bw'eyasiima, kabaka no Kamani baize atyanu eri embaga gye mufumbiire.
5
Awo kabaka n'atumula nti Mwanguye Kamani kikolebwe nga Eseza bw'atumwire. Awo kabaka no Kamani ne baiza eri embaga Eseza gye yabbaire afumbire.
6
Awo kabaka n'akoba Eseza nga batyaime ku mbaga ey'omwenge nti Osaba ki? era kyakukolerwa; era weegayirira ki? kyatuukirizibwa ne bwe kyabba ekitundu ky'obwakabaka.
7
Awo Eseza n'airamu n'atumula nti Kye nsaba era kye neegayirira niikyo kino;
8
oba nga ŋanjire mu maiso ga kabaka, era kabaka bweyasiima okumpa kye nsaba, n'okutuukirizya kye neegayirira, kabaka no Kamani baize eri embaga gye ndibafumbira, era eizo ndikola nga kabaka bw'akobere.
9
Awo Kamani n'afuluma ku lunaku olwo ng'asanyukire era ng'ajaguzirya mu mwoyo: naye Kamani bwe yaboine Moludekaayi mu mulyango gwa kabaka, nga tayemerera so nga tamusegulira, n'aizula obusungu eri Moludekaayi.
10
Era naye Kamani n'azibiikirizya n'airayo eika; n'atuma n'aleeta mikagwa gye no Zeresi mukali we.
11
Awo Kamani n'abakobera ekitiibwa ky'obugaiga bwe, n'abaana be bwe bekankana obungi, n'ebigambo byonabyona kabaka mwe yamukuliirye, era bwe yamukulirye okusinga abakungu ba kabaka n'abaidu be.
12
Era Kamani n'atumula nti niiwo awo, Eseza kadulubaale teyaganyire muntu yenayena kuyingira wamu no kabaka eri embaga gye yabbaire afumbire wabula nze; era n'eizo anjetere wamu no kabaka.
13
Naye ebyo byonabyona bibulaku kye bingasa nga nkaali mbona Moludekaayi Omuyudaaya ng'atyama ku mulyango gwa kabaka.
14
Awo Zeresi mukali we ne mikagwa gye bonabona ne bamukoba nti Basimbe ekitindiro obuwanvu bwakyo emikono ataanu, eizo oyogere no kabaka okuwanika Moludekaayi okwo: kale kaisi oyingire no kabaka eri embaga ng'osanyuka Ekigambo ekyo ne kisanyusya Kamani; n'asimbya ekitindiro.