Ensuula 1

1 Awo olwatuukire ku miretnbe gya Akaswero (niiye Akaswero oyo eyafugire okuva e Buyindi okutuuka e Bwesiyopya, amasaza kikumi mu abiri mu musanvu:) 2 awo ku mirembe egyo, kabaka Akaswero bwe yatyaime ku ntebe y'obwakabaka bwe eyabbaire mu lubiri lw’e Susani, 3 mu mwaka ogw'okusatu ogw'okufuga kwe n'afumbira embaga abakungu be bonabona n'abaidu be; obuyinza bw'e Buperusi n'e Bumeedi, abakungu n'abakulu b'amasaza nga bali mu maiso ge: 4 n'ayoleserya enaku nyingi obugaiga obw'obwakabaka bwe obw'ekitiibwa n'eitendo ery'obukulu bwe obutasingika, enaku kikumi mu kinaana. 5 Awo enaku egyo bwe gyatuukiriire, kabaka n'afumbira embaga abantu bonabona ababbaire bali awo mu lubiri w'e Susani, abakulu n'abatobato, enaku musanvu, mu luya olw'oku lusuku olw'olubiri lwa kabaka; 6 wabbairewo ebitimbe eby'engoye olweru n'olwa nawandagala n'olwa kaniki, nga bisibiibwe n'emiguwa egya bafuta ensa n'olw'efulungu n'empeta egya feeza n'empagi egy'amabbaale aganyirira: ebitanda byabbaire bya zaabu ne feeza ku mabbaale amaalirire aganyirira, amamyufu n'ameeru n'age kyenvu n'amairugavu. 7 Ne babanywesya mu bintu ebye zaabu, (ebintu nga tebifaanana byonka na byonka,) n'omwenge ogwa kabaka mungi inu, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwabbaire. 8 N'okunywa ne kubba ng'amateeka bwe gali; nga wabula ayinza okuwalirizya: kubanga kabaka bwe yabbaire alagiire atyo abaami bonabona ab'omu nyumba ye bakolenga buli muntu nga bw'ayatakire: 9 Ne Vasuti kadulubaale n'afumbira abakali embaga mu nyumba ya kabaka, eya kabaka Akaswero: 10 Awo ku lunaku olw'omusanvu, omwoyo gwa kabaka bwe gwasanyukire olw'omwenge, n'alagira Mekumani no Bizusa no Kalubona no Bigusa no Abagusa no Zesali no Kalukasi, abalaawe musanvu abaaweererezanga mu maiso ga Akaswero kabaka, 11 okuteeta Vasuti kadulubaale mu maiso ga kabaka ng'atikiire engule ey'obwakabaka okwolesya amawanga n'abakungu okusa bwe kubanga yabbaire musa okulingirira: 12 Naye kadulubaale Vasuti n'agaana okwiza olw'ekiragiro kya kabaka bwe yamulagirizirye abalaawe: kabaka Kyeyaviire asunguwala inu, ekiruyi kye ne kibuubuuka mu iye. 13 Awo kabaka n'akoba abagezi abaategeera ebiseera, (kubanga eyo niiyo yabbaire empisa ya kabaka eri bonabona abaamanyire amateeka n'emisango; 14 no Kalusena no Sesali no Adumasa no Talusiisi no Melesi no Malusema ne Memukani, abakungu musanvu ab'e Buperusi n'e Bumeedi; abaalabanga amaiso ga kabaka era abaatyamanga ku ntebe egy'oku mwanjo mu bwakabaka, abo niibo baamwiriire:) nti 15 Twakola tutya kadulubaale Vasuti ng'amateeka bwe gali, kubanga takolere ekyo kabaka Akaswero ky'amulagirizirye abalaawe? 16 Awo Memukani n'airamu mu maiso ga kabaka n'abakungu nti Vasuti kadulubaale tayonoonere kabaka yenka era naye n'abakungu bonana n'amawanga gonagona agali mu masaza gonagona aga kabaka Akaswero. 17 Kubanga ekikolwa kino ekya kadulubaale kiryatiikirira mu bakali bonabona okunyoomesyanga baibawabwe mu maiso gaabwe bwe kyakoberwanga nti Kabaka Akaswero yalagiriire Vasuti kadulubaale okuleetebwa mu maiso ge naye n'ataiza. 18 Awo ku lunaku luno abakyala ab’e Buperusi n'e Bumeedi abawuliire ekikolwa kya kadulubaale bakoba batyo abakungu bonabona aba kabaka: Kale walibbaawo okunyooma kungi n'obusungu. 19 Kabaka bw'eyasiima atyo, alaaliike ekiragiro kya kabaka, era kiwandiikibwe mu mateeka aga Abaperusi n'Abameedi kireke okuwaanyisibwa, Vasuti aleke okwiza ate mu maiso ga kabaka Akaswero; era n'obukulu bwe obwa kadulubaale kabaka abuwe ogondi amusinga obusa. 20 Awo bwe balaaliika eiteeka lya kabaka ly'ayateeka okubunya obwakabaka bwe bwonabwona, (kubanga bunene,) kale abakali bonabona bateekangamu ekitiibwa baibawabwe, abakulu n'abatobato. 21 Ekigambo ekyo ne kisanyusya kabaka n'abalangira; kabaka n'akola ng'ekigambo kya Memukani bwe kyabbaire: 22 kubanga yaweerezerye ebaluwa mu masaza gonagona aga kabaka; mu buli isaza ng'empandiika yaalyo bwe yabbaire, na buli igwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwabbaire, buli musaiza afugenga mu nyumba ye iye, era akiraalike ng'olulimi lw'abantu be bwe lwabbaire.