Ensuula 4
1
Kyenva mbeegayirira nze omusibe mu Mukama waisu okutambulanga nga bwe kusaanira okwetebwa kwe mwayeteyibwe,
2
n'obwikaikamu bwonabwona n'obuwombeefu, n'okugumiikirizia, nga muzibiikirizagananga mu kutakagananga,
3
nga munyiikiranga okwekuuma obumu bw'Omwoyo mu kusibibwa n'emirembe.
4
Omubiri guli gumu, n'Omwoyo mumu, era nga mwena bwe mwayeteibwe mu kusuubira okumu okw'okwetebwa kwanyu;
5
Mukama waisu mumu, okwikirirya kumu, okubatiza kumu,
6
Katonda mumu, Itaaye wa bonabona, afuga byonabyona, abita mu byonabyona, era ali mu byonabyona.
7
Naye buli muntu mu ife yaweweibwe ekisa ng'ekigera ky'ekirabo kya Kristo bwe kiri.
8
Kyava atumula nti Bwe yaninire waigulu, n'anyaga okunyaga, N'awa abantu ebirabo.
9
(Naye ekigambo ekyo nti Yaninire, kikoba ki wabula okukoba nti era yaikire mu njuyi egya wansi egy'ensi?
10
Eyaikire era niiye oyo eyaniniire waigulu einu okusinga eigulu lyonalyona, kaisi atuukirirye byonabyona.)
11
Era oyo n'awa abandi okubba abatume, n'abandi banabbi, n'abandi ababuulizi, n'abandi abalunda n'abayigirizia;
12
olw'okutuukirirya abatukuvu, olw'omulimu ogw'okuweerezia, olw'okuzimba omubiri gwa Kristo:
13
okutuusia lwe tulituuka fenafena mu bumu obw'okwikiriria, n'obw'okutegeera Omwana wa Katonda, lwe tulituuka okubba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky'obukulu obw'okutuukirira kwa Kristo:
14
tulekenga okubba ate abaana abatobato, nga tuyuugayuuga nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigirizia, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okusengererya okuteesia okw'obubbeyi;
15
naye, bwe tutumulanga amazima mu kutakagananga, kaisi tukule okutuuka mu iye mu byonabyona, niigwo mutwe, Kristo;
16
mu oyo omubiri gwonagwona bwe gugaitibwa okusa ne gunywezebwa awamu buli nyingo ng'ereeta ebyayo, ng'okukola mu kigera okwa buli kitundu bwe kuli, omubiri gweyongera okukula olw'okwezimba mu kutakagananga.
17
Kyenva ntumula kino ne ntegeezia mu Mukama waisu, imwe mulekenga okutambula ate, era ng'ab'amawanga bwe batambula mu birowoozo byabwe ebibulamu,
18
nga bazikizibwa amagezi gaabwe, nga baawulibwa ku bulamu bwa Katonda olw'obutategeera obuli mu ibo, olw'okukakanyala okw'omwoyo gwabwe;
19
kubanga beerabira okulumwa, ne beewaayo mu bwenzi, okukolanga eby'obugwagwa bwonabwona mu kwegomba.
20
Naye imwe temwayegere mutyo Kristo;
21
oba nga mwamuwuliire, ne muyigirizibwa mu iye ng'amazima bwe gali mu Yesu:
22
mu bigambo by'empisa egy'oluberyeberye, imwe okwambula omuntu ow'eira, avunda olw'okwegomba okw'obubbeyi;
23
era okufuuka abuyaaka mu mwoyo ogw'ebirowoozo byanyu,
24
okuvaala omuntu omuyaaka, eyatondeibwe mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw'amazima.
25
Kale mwambule obubbeyi, mutumulenga amazima buli muntu ni mwinaye: kubanga tuli bitundu bya banaisu fenka na fenka.
26
Musunguwalenga so temwonoonanga: eisana lirekenga okugwa ku busungu bwanyu:
27
so temuwanga ibbanga Setaani.
28
Eyaibbanga alemenga okwibba ate: naye waakiri afubenga, ng'akola ebisa n'emikono gye, kaisi abbenga n'eky'okumuwa eyeetaaga.
29
Buli kigambo ekivundu kireke okuvanga mu munwa gwanyu, naye ekisa bwe kyabbangawo olw'okuzimba nga omuntu bwe yeetaaga, abawulira kibawenga ekisa.
30
So temunakuwalyanga Mwoyo Mutukuvu owa Katonda, eyabateekeseryeku akabonero okutuusia olunaku olw'okununulibwa.
31
Okukaawa kwonakwona n'obusungu n'obukambwe n'okukaayana
32
era mubbenga n'obusa mwenka na mwenka, abakwatibwa ekisa, nga musonyiwagananga, era nga katonda bwe yabasonyiwire mi kristo.