Ensuula 4
1
Muwulire ekigambo kino, imwe ente egy'e Basani, abali ku lusozi lwe Samaliya, abajooga abaavu, abakamula abeetaaga, abakoba bakama baabwe nti Muleete tunywe.
2
Mukama Katonda alayiire obutukuvu bwe nga, Bona, enaku giribatuukaki lwe balibatolawo n'amalobo, n'ekitundu kyanyu ekirifikawo balibatoolawo n'amalobo agavuba.
3
Era mulivaamu nga mubita mu bituli ebiwagwirwe, buli nte ng'esimbira dala mu maiso gaayo; ne mwesuula mu Kalumooni, bw'atumula Mukama.
4
Mwize e Beseri mwonoone; mwize e Girugaali mutumule okwonoona kwanyu; era muleetenga sadaaka gyanyu buli makeeri n'ebitundu byanyu eby'eikumi buli naku eisatu;
5
muweeyo sadaaka ey'okwebalya ku ebyo ebizimbulukuswa, mulangirire ebiweebwayo ku bwanyu mubiraalike: kubanga ekyo niikyo kye musiima, ai imwe abaana ba Isiraeri, bw'atumula Mukama Katonda.
6
Era nzeena mbawaire obulongoofu bw'amainu mu bibuga byanyu n'okubulwa emere mu manyumba ganyu gonagona: era naye temwiranga gye ndi, bw'atumula Mukama.
7
Era nzeena mbaziyirirye amaizi, ng'ekaali esigaireyo emyezi isatu okutuusya amakungula: ne ntonyesya amaizi ku kibuga ekimu, ne nziyiza amaizi okutonnya ku kibuga ekindi: ekitundu kimu kyatonyeibweku, n'ekitundu ky'etaatonyeibweku ne kiwotoka.
8
Awo ab'omu bibuga ebibiri oba bisatu ne batambulatambula ne batuuka mu kibuga ekimu okunywa amaizi, so tebaikutanga: era naye temwiranga gye ndi, bw'atumula Mukama.
9
Mbakubbire n'okugengewala n'obukuku: akasiisa kaliire olufulube lw'ensuku gyanyu n'ensuku gyanyu eg'yemizabbibu n'emitiini gyanyu n'emizeyituuni gyanyu: era naye temwiranga gye ndi, bw'atumula Mukama.
10
Mpeereirye mu imwe kawumpuli ng'engeri ey'e Misiri bwe yabbaire: abalenzi banyu mbaitire n'ekitala, ne ntoolawo embalaasi gyanyu; ne ninisirye no mu nyindo gyabwe okuwunya kw'olusiisira lwanyu: era naye temwiranga gye ndi, bw'tumula Mukama.
11
Nswire abamu ku imwe nga Katonda bwe yaswire Sodomu ne Gomola, mweena ne mubba ng'olugada ogusiikibwa mu musyo: era naye temwiranga gye ndi, bw'atumula Mukama.
12
Kyendiva nkukola nti, ai Isiraeri: era kubanga ndikukola kino, weeteeketeeke okusisinkana no Katonda wo, ai Isiraeri.
13
Kubanga, bona, oyo abbumba ensozi, era atonda embuyaga, era abuulira omuntu by'alowooza, afuula amakeeri okubba endikirirya, era aniina ku bifo ebigulumivu eby'ensi; Mukama Katonda ow'eigye niiryo eriina lye.