1
Awo Dawudi n'akuŋaanya ate abasaiza bonabona abalonde aba Isiraeri, emitwalo isatu.
2
Dawudi n'agolokoka n'ayaba n'a bantu bonabona Ababbaire naye, okuva e Baale Yuda okutoolayo sanduuku ya Katonda okuginiinisya, eyetebwa Eriina lyene, eriina lya Mukama ow'e igye atyama ku bakerubbi.
3
Ne bateeka sanduuku ya Katonda ku gaali enjaka, ni bagitoola mu nyumba ya Abinadaabu eyabbaire ku lusozi: Uza n'e Akiyo, bataane ba Abinadaabu, ni babbinga egaali enjaka.
4
Ne bagitoola mu nyumba ya Abinadaabu eyabbaire ku lusozi n'e sanduuku ya Katonda: Akiyo n'atangira esanduuku.
5
Dawudi n'e nyumba yonayona eya Isiraeri ne bakubbira mu maiso ga Mukama ebintu eby'emiberosi eby'e ngeri gyonagyona n'e nanga n'e kongo n'ebitaasa n'e nsaansi n'e bisaala.
6
Awo bwe baatuukire mu iguuliro lya Nakoni, Uza n'a golola omukono gwe ku sanduuku ya Katonda n'a gikwataku; kubanga ente yeesiitaire.
7
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Uza; Katonda n'a mukubbira eyo olw'e kyonoono kye; n'afiira awo awali sanduuku ya Katonda.
8
Awo Dawudi n'a nyiiga kuba Mukama awamatukiirwe Uza: n'ayeta ekifo ekyo Perezuza, ne watynu.
9
Dawudi n'atya Mukama ku lunaku olwo; n'a tumula nti Esanduuku ya Mukama eriiza etya gye ndi?
10
Awo Dawudi n'atataka kwijulula sanduuku ya Mukama okugireeta gy'ali, mu kibuga kya Dawudi; naye Dawudi n'a gikyamya n'a giyingirya mu nyumba ya Obededomu Omugiiti.
11
Awo esanduuku ya Mukama n'e mala emyezi isatu mu nyumba ya Obededomu Omugiiti: Mukama n'awa omukisa Obededomu n'e nyumba ye yonayona.
12
Awo ne bakobera kabaka Dawudi nti Mukama awaire omukisa enyumba ya Obededomu n'e bibye byonabyona olw'esanduuku ya Katonda. Dawudi n'ayaba n'a toola esanduuku ya Katonda mu nyumba ya Obededomu n'a giniinisirya mu kibuga kya Dawudi ng'a sanyuka.
13
Awo olwatuukire abaasitula esanduuku ya Mukama bwe babbaire batambwire ebigere mukaiga, n'awaayo ente n'ekye isava.
14
Dawudi n'a kinira mu maiso ga Mukama n'a maani ge gonagona; era Dawudi nga yesibire ekanzo eya bafuta.
15
Awo Dawudi n'e nyumba yonayona eya Isiraeri ni baninisya esanduuku ya Mukama nga batumulira waggulu era nga bafuuwa eikondeere.
16
Awo olwatuukiire esanduuku ya Mukama bwe yabbaire ng'e yingira mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'a lengezya mu dirisa, n'a bona kabaka Dawudi ng'a buuka ng'a kinira mu maiso ga Mukama; n'a munyooma mu mwoyo gwe.
17
Ne bayingirya esanduuku ya Mukama, ne bagiteeka mu kifo kyayo wakati mu weema Dawudi gye yabbaire agisimbiire: Dawudi n'a waayo ebiweebwayo ebyokyebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maiso ga Mukama.
18
Awo Dawudi bwe yabbaire amalire okuwaayo ekiweebwayo ekyokyebwa n'e biweebwayo olw'emirembe, n'asabira abantu omukisa mu liina lya Mukama ow'e igye.
19
N'agabira abantu bonabona, ekibiina kyonakyona ekya Isiraeri, abasaiza n'abakali, buli muntu omugaati n'o mugabo ogw'e nyama n'e kitole eky'e izaibbibu enkalu. Awo abantu bonabona ni bairayo buli muntu mu nnyumba ye.
20
Awo Dawudi n'a irawo okusabira ab'o mu nyumba ye omukisa. Awo Mikali muwala wa Sawulo n'a fuluma okusisinkana n'o Dawudi n'a tumula nti Kabaka wa Isiraeri ng'a bbaire we kitiibwa watynu, eyeebiikuliire watyanu mu maiso g'a bazaana b'a baidu be, ng'o mumu ku basaiza ababulaku kye bagasa bwe yeebiikula ng'abula nsoni!
21
Dawudi n'a koba Mikali nti Kyabbire mu maiso ga Mukama, eyanondere okusinga itaawo n'o kusinga enyumba ye yonnayona okunfuula omukulu w'a bantu ba Mukama, owa Isiraeri: kyenaavanga nzanyira mu maiso ga Mukama.
22
Era neeyongeranga okwetoowaalya okusingawo, era naabbanga anyoomebwa mu maiso gange nze: naye abazaana b'o yogeireku abo balinteekamu ekitiibwa.
23
Mikali muwala wa Sawulo n'atazaala mwana okutuusya ku lunaku kwe yafiiriire.