Ensuula 2
1
Naye era ne wabbaawo na bannabbi b'obubbeyi mu igwanga, era nga ne mu imwe bwe walibba begeresya b'obubbeyi, abegeresya mu nkiso obukyamu obuzikirirya, era nga beegaana no Mukama waabwe eyabagulire, nga beereetera okuzikirira okwangu.
2
Era bangi abalisengererya obukaba bwabwe; abalivumisya engira ey'amazima.
3
Era olw'okwegomba balibaviisyamu amagoba n'ebigambo ebyagunjiibwe: omusango gw'abo okuva eira tegulwa, n'okuzikirira kwabwe tekuwongera.
4
Kuba oba nga Katonda teyasonyiwire bamalayika bwe baayonoonere, naye n'abasuula mu lukonko n'abawaayo eri obwiina obwendikirirya, okubakuumira omusango;
5
era n'atasonyiwa ensi ey'eira, naye n'awonya Nuuwa, omubuulizi w'obutuukirivu, na bainaye omusanvu bonka, bwe yaleetere amataba ku nsi ey'abatatya Katonda:
6
era bwe yasirikirye ebibuga Sodoma ne Gomola n'abisalira omusango ng'abizikirizia ng'abifuula ekyokuboneraku eri abo abatalitya Katonda;
7
era n'alokola Luti omutuukirivu, bwe yabbaire nga yeeraliikirira inu olw'empisa egy'obukaba egy'ababbiibi
8
(kubanga omuntu oyo omutuukirivu, bwe yatuulangire mu ibo, olw'okubona n'olw'okuwulira yanyolwanga mu mwoyo gwe omutuukirivu bulijo bulijo olw'ebikolwa byabwe eby'obujeemu):
9
Mukama waisu amaite okulokola abatya Katonda mu kukemebwa, n'okukuuma abatali batuukirivu nga babonerezebwa okutuusia ku lunaku olw'omusango;
10
naye okusinga bonabona abatambula okusengererya omubiri mu kwegomba okw'obugwagwa ne banyooma okufugibwa. Abatatya, abakakanyali, tebakankana kuvuma be kitiibwa:
11
naye bamalayika, waire nga niibo basinga amaani n'obuyinza, tebabaleetereku musango gwo buvumi eri Mukama waisu.
12
Naye abo, ng'ensolo egibula magezi egizaalibwa ensolo obusolo egy'okukwatibwanga n'okuzikirizibwanga, abavuma mu bigambo bye batategeera, mu kuzikirira kwabwe tebalireka kuzikirizibwa,
13
nga boonoonebwa, niiye mpeera ey'okwonoona; abalowooza ebinyumu by'emisana nga isanyu, mabala n'obwonoonefu, abatiguka mu mbaga gy'abwe egy'okutakagana nga balya embaga awamu naimwe:
14
nga balina amaiso agaizwire obwenzi, agataleka kwonoona; nga basendasenda emyoyo egitali minywevu; nga balina omwoyo ogwamanyiirire okwegomba; abaana ab'okukolimirwa;
15
abaleka engira engolokofu ne bakyama, nga basengererya engira ya Balamu omwana wa Beyoli, eyatakire empeera ey'obutali butuukirivu;
16
naye n'anenyezebwa olw'obujeemu bwe iye: endogoyi etetumula bwe yatumwire n'eidoboozi ly'omuntu yaziyizire eiralu lya naabbi.
17
Abo niigyo ensulo egibulamu maizi, era niilwo lufu olutwalibwa n'embuyaga, abakuumirwa endikirirya ekwaite zigizigi.
18
Kubanga, bwe bwebatumula ebigambo ebikulu einu ebibulamu, basendasenda mu kwegomba kw'omubiri, mu bukaba, abo abali okumpi n'okubairuka abatambulira mu bukyamu;
19
nga babasuubizia okuweebwa eidembe, nga ibo beene baidu bo kuzikirira; kubanga omuntu bw'awangulibwa mwene, era abba mwidu we.
20
Kuba oba nga bwe bamalire okwiruka okuva mu bugwagwa bw'ensi mu kutegeerera dala Mukama waisu era Omulokozi Yesu Kristo, naye ne beegombesia mu obwo omulundi ogw'okubiri ne bawangulibwa eby'oluvaanyuma byabwe bisinga obubbiibi eby'oluberyeberye.
21
Kubanga kyandibbaire kisa gye bali singa tebaategeire ngira y'obutuukirivu, okusinga, bwe bamalire okugitegeera, okwira enyuma okuleka ekiragiro ekitukuvu kye baaweweibwe.
22
Kyabatuukirire ng'olugero olw'amazima bwe luli, nti Embwa eirire ebisesemye byayo, n'embiizi enaabibwa eirira okwekulukunya mu bitoosi.