Ensuula 9
1
Kubanga eby'okuweereza abatukuvu tekineetaagisia kubibawandiikira:
2
kubanga maite okutaka kwanyu, kwe neenyumiririziamu eri ab'e Makedoni ku lwanyu, nga Akaya yaakamala omwaka gumu okweteekateeka; n'okunyiikira kwanyu kwakubbirizirye bangi mu ibo.
3
Naye ntuma ab'oluganda, okwenyumirizia kwaisu ku lwanyu kuleke okuba okw'obwereere mu kigambo ekyo; nga bwe ntumwire, kaisi mweteeketeeke:
4
koizi ab'e Makedoni abandi bwe baliiza nanze, bwebalibasanga nga temweteekereteekere, ife (obutatumula imwe) tuleke okukwatibwa ensoni mu kusuubira okwo.
5
Kyenviire ndowooza nga kiŋwaniire okwegayirira ab'oluganda, bantangire: okwiza gye muli, basooke balongoose omukisa gwanyu gwe mwasuubizirye eira, kaisi gweteeketeeke, ng'omukisa, so ti ng'ekisoloozebwa.
6
Naye kye ntumwire kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga enyingi, alikungula nyingi.
7
Buli muntu akolenga nga bw'amaliire mu mwoyo gwe; ti lwe naku, waire olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ataka oyo agaba n'eisanyu.
8
Era Katonda ayinza okwalya ekisa kyonakyona gye muli imwe nga mulina ebibamala byonabyona enaku gy'onagyona mu bigambo byonabyona Kaisi musukirirenga mu bikolwa byonabyona ebisa:
9
nga bwe kyawandiikiibwe nti niiye asasaanya, niiye agabira abaavu; Obutuukirivu bwe bwo lubeerera emirembe gyonagyona.
10
Era oyo awa ensigo omusigi n'emere ey'okulya, anaabawanga, yabongerangaku ensigo gyanyu; era yayalyanga ebibala eby'obutuukirivu bwanyu:
11
nga mugaigawazibwa mu byonabyona mukolenga obugabi bwonabwona, obwebalisia Katonda mu ife.
12
Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo tekwizula bwizuli ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukirira olw'okwebalya okungi eri Katonda;
13
kubanga olw'okukemebwa kwanyu mu kuweereza kuno batendereza Katonda olw'okugonda okw'okwatula kwanyu eri enjiri ya Kristo, n'olw'obugabi bw'okugabana kwanyu eri bo n'eri bonabona;
14
era ibo bonka nga balumirwa imwe emyoyo mu kubasabira olw'ekisa kya Katonda ekitasingika mu imwe:
15
Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekitatumulikika.