Ensuula 4
1
Naye Omwoyo atumula lwatu nti mu naku egy'oluvanyuma walibbaawo abaliva mu kwikirirya, nga bawulira emyoyo egigotya n'okwegeresya kwa basetaani,
2
olw'obunanfuusi bw'ababbeyi, nga bookyebwa emyoyo gyabwe nga n'ekyoma ekyokya,
3
nga bawera okufumbirwagananga era nga balagira okulekanga eby'okulya, Katonda bye yatondere biriibwenga mu kwebalya abaikiriya ne bategeerera kimu amazima.
4
Kubanga buli kitonde kya Katonda kisa, so wabila kyo kusuula bwe kitoolebwa n'okwebalya:
5
kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda n'okusaba.
6
Bwewaijukiryanga ab'oluganda ebyo, wabbanga muweereza musa owa Kristo Yesu, ng'okulira mu bigambo eby'okwikirirya n'eby'okwegeresya okusa kwe wasengereirye:
7
naye enfumu egitali gye eidiini egy'obusirusiru gy'obbe olekanga. Weemanyiriryenga okutya Katonda:
8
kubanga okwemanyirirya kw'omubiri kugasa kaseera katono; naye okutya Katonda kugasa mu byonabyona, kubanga kulina okusuubiza kw'obulamu obwa atyanu n'obw'obwaba okwiza.
9
Ekigambo ekyo kyesigwa era ekisaanira okwikirizibwa kwonakwona.
10
Kubanga kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga twasuubiire Katonda omulamu, Omulokozi w'abantu bonabona, okusinga w'abaikirirya,
11
Lagiranga ebyo obyegeresyenga,
12
Omuntu yenayena takunyoomanga lwa buvubuka bwo; naye bbanga kyo kuboneraku eri abo abaikirirya mu kutumulanga, mu kutambulanga: mu kutakanga, mu kwikiriryanga, mu kubbanga omulongoofu.
13
Okutuusia lwe ndiiza, nyiikiranga mu kusoma, n'okubuuliriranga, n'okwegeresyanga.
14
Tolekanga kirabo ekiri mu iwe, kye waweweibwe olw'obunabbi awamu n'okuteekebwaku emikono gy'abakaire.
15
Ebyo obirowozenga, obbenga mu ebyo; okubitirira kwo kubonekenga eri bonabona.
16
Weekuumenga wenka n'okwegeresya kwo. Nyiikiriranga mu ebyo; kubanga bw'okola otyo, olyerokola wenka era n'abo abakuwulira.