Ensuula 4

1 Kale kubanga Kristo yabonyaabonyezeibwe mubiri, mweena muvaalenga ebyokulwanisia niigwo mwoyo ogwo; kubanga abonyaabonyezebwa omubiri ng'amalire okuleka ebibbiibi; 2 kaisi mumale ebiseera byanyu ebisigaireyo nga mukaali muli mu mubiri, ti lwo kwegomba kwa bantu, naye olw'ebyo Katonda by'ataka. 3 Kubanga ebiseera ebyabitire byasoboire okutumala okukolanga ab'amawanga bye bataka, n'okutambuliranga mu bwenzi, okwegomba, okwekamiriria omwenge, ebinyumu, obutamiivu, n'okusinza ebifaananyi okw'omuzizo: 4 ebyo niibyo bibeewuunyisia kubanga temwirukira wamu nabo mu bukaba obutabonebwanga butyo, nga babavuma: 5 abaliwozia ensonga eri oyo eyeeteekereteekere okusala omusango gw'abalamu n'abafu. 6 Kubanga enjiri kyeyaviire ebuulirwa era n'abafu, kaisi basalirwe omusango ng'abantu bwe bali mu mubiri, naye babbe abalamu nga Katonda bw'ali mu mwoyo. 7 Naye enkomerero ye byonabyona eri kumpi: kale mwegenderezenga mutamiirukukenga olw'okusaba: 8 okusinga byonabyona nga mulina okutakagananga okungi einu mwenka na mwenka: kubanga okutaka kubiika ku bibbiibi bingi: 9 nga musemberyagananga awabula kwemulugunya: 10 nga buli muntu bwe yaweweibwe ekirabo, nga mukiweerezia mwenka na mwenka mutyo, ng'abawanika abasa ab'ekisa kya Katonda ekitali kimu; 11 omuntu yenayena bw'atumulanga, atumulenga ng'ebiragiro bya Katonda bwe biri; omuntu yenayena bw'aweerezanga, aweerezenga ng'amaani Katonda g'amuwa bwe gali: mu byonabyona Katonda agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, alina ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina. 12 Abatakibwa, temwewuunyanga olw'okwokyebwa okuli mu imwe, okwiza gye muli olw'okubakema, ng'ababoine eky'ekitalo: 13 naye, kubanga mwikirirya kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikuliwa kw'ekitiibwa kye kaisi musanyuke n'okujaguza. 14 Bwe muvumibwanga olw'eriina lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw'ekitiibwa era ogwa Katonda atyama kwi imwe. 15 Kubanga omuntu yenayena ku imwe tabonyaabonyezebwanga ngo mwiti, oba mwibbi, oba mukozi wo bubbiibi, oba akeeta ebya bainaye: 16 naye omuntu yenayena bw'abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo, takwatibwanga ensoni; naye atenderezenga Katonda mu liina eryo. 17 Kubanga obwire butuukire omusango gutandikire mu nyumba ya Katonda: kale, oba nga gusookeire gye tuli, enkomerero guliba gutya eri abo abatagondera njiri ya Katonda? 18 Era oba nga kizibu omutuukirivu okulokoka, atatya Katonda omwonooni aliboneka waina? 19 Kale n'abo ababonyaabonyezebwa nga Katonda bw'eyabatakire bamugisisyenga Omutonzi omwesigwa, obulamu bwabwe olw'okukola obusa.