Ensuula 5
1
Nzigizire mu nimiro yange, mwanyinanze mugole wange: Nogere mooli yange n'eby'akaloosa byange; Ndiire ebisenge byange eby'enjoki n'omubisi gwange; Nywire omwenge gwange n'amata gange. Mulye, imwe ab'omukwanu; Munywe, niiwo awo, mwikute, imwe baganzi bange.
2
Nabbaire ngonere, naye omwoyo gwange nga gubona: Niiryo eidoboozi lyo muganzi wange, akoona ng'atumula nti Njigulira, mwanyinanze, gwe ntaka, eiyemba lyange, owange abulaku eibala: Kubanga omutwe gwange guzubire omusulo, Emivumbo gy'enziiri gyange gizubire amatondo agobwire.
3
Nvaire ekizibawo kyange; naakivaala ntya? Nabire ebigere: nabyonoona ntya?
4
Muganzi wange n'ayingirya omukono gwe awali ekituli eky'omu lwigi, Omwoyo ne gunuma ku lulwe.
5
Ne ngolokoka okwigulirawo muganzi wange; Emikono gyange ne gitoonya mooli, N'engalo gyange nga gitoonya mooli ekulukuta, Ku mikonda egy'ekisiba.
6
Ne njigulirawo muganzi wange; Naye muganzi wange yabbaire nga yeeyabiire, ng'aviirewo. Omwoyo gwange gubbaire guntyemukire bw'atumwire: Ne musagira, naye ne ntasobola kumubona; Ne mweta, naye n'atangiramu.
7
Abakuumi abatambulatambula mu kibuga ne bambona, Ne bankubba ne bansumita; Abakuumi ba bugwe ne bantoolaku omunagiro gwange.
8
Mbalayirya, imwe abawala ba Yerusaalemi, bwe mwabona muganzi wange, Mumukoberenga ng'okutaka kwaba kungita.
9
Muganzi wo, niikyo ki okusinga omuganzi ogondi, Niiwe asinga abakazi bonabona obusa? Muganzi wo niikyo ki okusinga omuganzi ogondi, N'okulayirya n'otulayirya otyo?
10
Muganzi wange mutukuvu era mumyofu Atabula mu mutwalo.
11
Omutwe gwe guli nga zaabu ensa einu dala, Emivumbo gy'enziiri gye gya masade era miirugavu nga namuŋoona.
12
Amaiso ge gali ng'amayemba ku mbali g'obuyaaka obw'amaizi; Agaanaabibwa n'amata era agaateekebwamu obusa.
13
Amatama ge gali ng'omusiri ogw'emiido egy'akaloosa, ng'ebifunvu ebimeraku eiva eriwunya okusa; Emimwa gye giri ng'amakoola, nga gitoonya mooli ekulukuta.
14
Emikono gye giri ng'empeta egya zaabu eziteekebwamu berulo: Omubiri gwe guli ng'omulimu ogw'amasanga ogubikiibweku safiro.
15
Amagulu ge gali ag'empagi egy'amabbaale amanyiriri agisimbibwa ku biina ebya zaabu ensa: Enfaanana ye eri nga Lebanooni, ewooma einu nayini ag'emivule.
16
munwa gwe musa inu dala: niiwo awo, yenayena wo kutakibwa. Muganzi wange bw'ali atyo, era bw'ali atyo mukwanu gwange, Imwe abawala ba Yerusaalemi. Olwembo Lwa Sulemaani