Ensuula 6

1 Ai Mukama; tonenya mu busungu bwo, So tombuulirira mu kiruyi kyo ekibuubuuka. 2 Onsaasire, ai Mukama; kubanga mpotokeire dala: Ai Mukama, omponye; kubanga amagumba gange geeraliikiriire. 3 Era n'emeeme yange yeeraliikiriire inu: Weena, ai Mukama, Olituukya waina? 4 Ira, ai Mukama, ondokole emeeme yange: Omponye olw'ekisa kyo: 5 Kubanga wabula akwijuukirira mu kufa: Yani alikwebalirya mu magombe? 6 Okusinda kwange kunkoowerye; Buli bwire nkulukutya ekiriri kyange; Ekitanda kyange nkizibya n'amaliga. 7 Eriiso lyange likulukutire olw'okunakuwala; Likairikire olw'abalabe bange bonabona. 8 Muveewo we ndi, mwenamwena abakola ebitali bituukirivu; Kubanga Mukama awuliire eidoboozi ly'okukunga kwange. 9 Mukama awuliite okwegayirira kwange; Mukama yanakiriryanga okusaba kwange. 10 Abalabe bange bonabona baliswazibwa, balyeraliikirira inu: Balidda enyuma, baliswazibwa mangu.