Ensuula 3
1
Mukama, abalabe bange nga beeyongeire! Abagolokoka okunnumba bangi.
2
Bangi abatumula ku meeme yange Nti Talina kuyambwa mu Katonda. (Seera)
3
Naye iwe, Mukama, oli ngabo enkuuma; Ekitiibwa kyange, era ayimirerya omutwe gwange.
4
N'eidoboozi lyange, nkoowoola Mukama, Yeena angiramu okuva ku lusozi lwe olutukuvu. (Seera)
5
Nagalamirira ne ngona; Ne nzuuka; kubanga Mukama niiye ankuuma.
6
Tinditya mitwalo gya bantu, Abaneetooloola okunumba.
7
Golokoka, ai Mukama: ondokole, ai Katonda wange: Kubanga wakubbire abalabe bange bonabona ku itama, Wamenyere amainu g'ababbiibi.
8
Obulokozi buli eri Mukama: Omukisa gwo gubbe ku bantu bo. (Seera)