Engero Ensuula 5
1
Mwana wange, teekangayo omwoyo eri amagezi gange; Teganga okitu eri okutegeera kwange:
2
Kaisi okuumenga okuteesya, N'omunwa gwo gukwatenga okumanya.
3
Kubanga omunwa gw'omukali omugeni gitonya omubisi gw'enjoki, N'omunwa gwe gusinga amafuta obugonvu:
4
Naye enkomerero ey'oluvanyuma ekaawa ng'omususa, Esala ng'ekitala eky'obwogi obubiri.
5
Ebigere bye bikka mu kufa; Ebisinde bye bikwata amagombe;
6
N'okulaba talaba kkubo ttereevu ery'obulamu: Amakubo ge gasagaasagana, so takimanyi.
7
Kale nno, baana bange, mumpulirenga, So temuvanga mu bigambo eby'omu kamwa kange.
8
Ekkubo lyo limwesambire ddala, So tosembereranga luggi lwa nnyumba ye:
9
Olemenga okuwa abalala ekitiibwa kyo, N'emyaka gyo eri omukambwe.
10
Abagenyi balemenga okukkuta amaanyi go; N'emirimu gyo giremenga okubeera mu nnyumba y'omunnaggwanga;
11
Naawe n'onakuwala enkomerero yo ng'etuuse Ennyama yo n'omubiri gwo bwe birimalibwawo,
12
N'oyogera nti Nga nakyawanga okuyigirizibwa, Omutima gwange ne gunyoomanga okunenyezebwa;
13
So saagonderanga ddoboozi lya bayigiriza bange, So saateganga kutu kwange eri abo abanjigirizanga!
14
Nabulako katono okuba mu bubi bwonna Wakati mu kkuŋŋaaniro n'ekibiina.
15
Onyweranga amazzi mu kidiba kyo ggwe, N'amazzi agakulukuta mu luzzi lwo ggwe.
16
Ensulo zo zandisaasaanidde ddala, Emigga egy'amazzi ne giba mu nguudo?
17
Gabeereranga ddala gago wekka, So si ga bagenyi wamu naawe.
18
Ensulo yo ebeerenga n'omukisa; Era sanyukiranga omukazi ow'omu buvubuka bwo.
19
Ng'ennangaazi ekwagala n'empeewo ekusanyusa, Amabeere ge gakumalenga mu biro byonna; Era osanyukirenga bulijjo okwagala kwe.
20
Kubanga lwaki ggwe okusanyukiranga omukazi omugenyi, mwana wange, N'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo?
21
Kubanga amakubo g'abantu gali mu maaso ga Mukama, Era atereeza eŋŋendo ze zonna.
22
Obutali butuukirivu bwe ye bulikwata omubi, Era alisibibwa n'emigwa egy'okwonoona kwe,
23
Alifa olw'okubulwa okuyigirizibwa; Era olw'obusirusiru bwe obungi aliwaba.