Engero Ensuula 13

1 Omwana ow'amagezi awulira okwegeresya kwa itaaye: Naye omunyoomi tawulira kunenyezebwa. 2 Omuntu yalyanga ebisa olw'ebibala eby'omunwa gwe: Naye emeeme ey'abasala enkwe yalyanga kukokerwa kyeju. 3 Akuuma omunwa gwe anyweza obulamu bwe: Naye ayasama einu omunwa gwe alibba n'okuzikirira. 4 Emeeme ey'omugayaavu yeegomba n'etebba ne kintu: Naye emeeme ey'abanyiikivu yageizanga. 5 Omuntu omutuukirivu akyawa obubbeyi: Naye omuntu omubbiibi mugwagwa, era akwatibwa ensoni. 6 Obutuukirivu bukuuma oyo akwata engira engolokofu: Naye ekyeju kisuula oyo alina ebibbiibi. 7 Wabbaawo eyeegaigawalya, naye nga abula kintu: Niiwo awo eyeeyavuwalya, naye ng'alina obugaiga bungi. 8 Obugaiga bwe niibwo obununula obulamu bw'omuntu: Naye omwavu, tawulira kukanga kwonakwona. 9 Omusana ogw'abatuukirivu gusanyuka: Naye etabaaza ey'ababbiibi erizikizibwa. 10 Amalala galeeta okuwakana okwereere: Naye amagezi gabba n'abo abateesya okusa. 11 Obugaiga obufunibwa olw'ebigambo ebibulamu bulikendeezebwa: Naye oyo akugaanya ng'akola emirimu alibba n'okwala. 12 Essuubi erirwawo lisinduukiriza emmeeme: Naye ekyegombebwa bwe kijja kiba muti gwa bulamu. 13 Buli anyooma ekigambo yeereetako okuzikirira: Naye oyo atya ekiragiro aliweebwa empeera. 14 Etteeka ery'omugezigezi nsulo ya bulamu, Okuva mu byambika eby'okufa. 15 Okutegeera okulungi kuleeta okuganja: Naye ekkubo ery'abasala enkwe bbi. 16 Buli muntu omutegeevu akola emirimu n'okumanya: Naye omusirusiru ayaliira obusirusiru. 17 Omubaka ow'ekyejo agwa mu bubi: Naye omutume omwesigwa kwe kulaama. 18 Obwavu n'ensonyi biriba by'oyo agaana okubuulirirwa: Naye assaayo omwoyo eri okuneenyezebwa alissibwamu ekitiibwa. 19 Ekyegombebwa bwe kituukirira kiwoomera emmeeme: Naye okuva mu bubi kwa muzizo eri abasirusiru. 20 Otambulanga n'abantu ab'amagezi, naawe oliba n'amagezi: Naye munnaabwe w'abasirusiru alibalagalwa. 21 Obubi bugoberera abalina ebibi: Naye abatuukirivu balisasulibwa ebirungi. 22 Omuntu omulungi alekera obusika abaana b'abaana be: N'obugagga bw'oyo alina ebibi buterekerwa omutuukirivu. 23 Mu nnimiro ez'abaavu mulimu emmere nnyingi: Naye wabaawo azikirizibwa olw'obutagoberera nsonga. 24 Atakwata muggo gwe akyawa omwana we: Naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali. 25 Omutuukirivu alya, emmeeme ye n’ekkuta: Naye olubuto lw'ababi lulirumwa enjala.