Ensuula 5
1
Koowoola; waliwo eyakuvugira? Era yani ku batukuvu gwewakyukira?
2
Kubanga okweralirira kwita omusirusiru, n'e iyali liita abula magezi.
3
Naboine omusirusiru ng'a simba emizi: Naye amangu ago ni naama ekifo ky'a bbaamu.
4
Abaana be babba wala n'e mirembe, Era babetentebwa mu mulyango, So wabula wo kubawonya.
5
Omwaka gwabwe omuyala agulya, N'a gutoola n'o mu mawa, N'o mutego guwankirawankira ebintu byabwe.
6
Kubanga okubona enaku tikuva mu nfuufu, So n'o bwinike tibuva mu itakali;
7
Naye abantu bazaalirwa obwiinike, ng'e nsansi bwe gibuuka waigulu.
8
Naye nze, ntaka okusagira Katonda, Era ntaka okulekera Katonda ensonga yange:
9
Akola ebikulu ebitasagirikika; Eby'e kitalo ebitaboneka:
10
Atonyesya amaizi ku nsi, N'asindika amaizi ku nimiro:
11
Awo n'a gulumizya abo abatoowazibwa; N'abo abali mu naku ni basitulibwa nu babba mirembe.
12
Aita enkwe egy'a bagerengetanya, Emikono gyabwe ne gitasobola kutuukirirya bye batandikire.
13
Akwatisya abagezi olukwe lwabwe ibo: N'o kuteesya kw'a b'e kyeju kumenyekera dala.
14
Babba n'e ndikirirya emisana, Era bawamanta mu iwango nga obwire.
15
Naye alokola mu kitala eky'o munwa gwabwe, Alokola eyeetaaga mu mukono gw'o w'a maani.
16
Kale omwavu n'abba n'o kusuubira, obutali butuukirivu ne buziba omunwa gwabwo.
17
Bona aweweibwe mukisa omuntu Katonda gw'a kangavula: Kale tonyooma kubuulirira kw'Omuyinza w'e bintu byonabona.
18
Kubanga niiye alumya era niiye anyiga; niiye asumita era engalo gye niigyo egiwonya.
19
Yakuwonyanga mu bwinike omukaaga; niiwo awo, mu musanvu tiwaabbenga bubbiibi obunaakukomangaku.
20
Mu njala yakununulanga obutafa; n'o mu ntalo yakuwonyanga mu maani g'e kitala.
21
Wagisibwanga awali okubambula kw'o lulimi; So tootyenga kuzikirira bwe kwizanga.
22
Wasekereranga okuzikirira n'e njala; So tootyenga nsolo gyo ku nsi.
23
Kubanga walagaananga endagaanu n'a mabbaale ag'o mu itale; N'e nsolo egy'o mu nsiko gyabbanga n'e mirembe gy'oli.
24
Era wamanyanga ng'e weema yo eri mirembe; Era walambulanga ekisibo kyo n'o tobulwa kintu.
25
Era wamanyanga ng'e izaide lyo lyabbanga ikulu. N'enda yo ng'o mwido ogw'e itale.
26
Olituuka mu magombe go ng'o wererye emyaka mingi. Ng'e kinywa ky'e ŋaanu bwe kiiza mu ntuuko gyakyo.
27
Bona, ekyo twakikeneenyere, bwe kiri kityo. Kiwulire okimanye Kaisi obbe kusa.