Ensuula 14

1 Ekigambo kya Mukama ekyaiziire Yeremiya ekyatumwiire ku kyanda bwe kiri. 2 Yuda awuubaala, n'enjigi gyayo giyongobera, batyaime ku itakali nga bavaire ebiirugala; n'okukunga kwa Yerusaalemi kuniinire. 3 N'abakungu baabwe batuma abaana baabwe abatobato emwiga: batuuka ku biina, ne batateekangamu maizi; bairiryeyo ensuwa gyabwe nga njereere: ensoni gibakwata, baswala, babiika ku mitwe gyabwe. 4 Olw'eitakali eryatikire, kubanga amaizi tigatonyanga mu nsi, abalimi kyebaviire bakwatibwa ensoni, babiika ku mitwe gyabwe. 5 Niiwo awo, n'empeewo eri ku itale ezaala, n'ereka omwana gwayo olw'obutabbaawo mwido. 6 N'entulege gyemerera ku nsozi egy'ewanza, giwejerawejera empewo ng'ebibbe; amaiso gaagyo gaziba olw'obutabbaawo bimera. 7 Obutali butuukirivu bwaisu waire nga butulumiriirye, kola omulimu olw'eriina lyo, ai Mukama: kubanga okwira kwaisu enyuma kungi; twakwonoonere. 8 Ai, iwe eisuubi lya Isiraeri, amulokolera mu biseera eby'okuboneramu enaku, wandibbereire ki ng'omubiti mu nsi, era ng'omutambuli akyama okukeesya obwire? 9 Wandibbeire ki ng'omuntu asamaaliriire, ng'omusaiza ow'amaani atasobola kulokola? era naye iwe, Ai Mukama, oli wakati mu ife, feena tutuumiibwe eriina lyo; totuleka. 10 Ati Mukama bw'akoba abantu bano nti batyo bwe batakanga okuwaba; tebaziyizyanga bigere byabwe: Mukama kyava aleka okubaikirirya; atyanu anaijukira obutali butuukirivu bwabwe, era anaabonererya ebibbiibi byabwe. 11 Awo Mukama n'ankoba nti tosabira bantu bano baweebwe ebisa. 12 Bwe basiibanga, tinawulirenga kukunga kwabwe; era bwe babaawangayo ebiweebwayo ebyokyebwa n'ebitone, timbaikiriryenga: naye ndibazikirirya n'ekitala n'enjala no kawumpuli. 13 Awo kaisi ne ntumula nti woowe, Mukama Katonda! Bona, banabbi babakoba nti Temulibona kitala so temulibba na njala; naye ndibawa emirembe egy'enkalakalira mu kifo kino. 14 Awo Mukama Kaisi n'ankoba nti Banabbi balagulira eby’obubbeyi mu liina lyange: tinabalagiire so tinatumwire nabo: babalagwiire okwolesebwa okw'obubbeyi n'obulaguli n'e kigambo ekibulamu n'obukuusa obw'omu mwoyo gwabwe ibo. 15 Mukama kyava atumula ati ebya banabbi abalagulira mu liina lyange so tinabatumire, naye ne batumula nti ekitala n'enjala tebiribba mu nsi eno: nti ekitala n'enjala niibyo birizikirya banabbi abo. 16 N'abantu be balagwiire balisuulibwa mu nguudo egy'e Yerusaslemi olw'enjala n'ekitala; so tebalibba na balibaziika, ibo na bakali baabwe waire bataane baabwe waire bawala baabwe: kubanga ndifuka ku ibo obubbiibi bwabwe. 17 Era olibakoba ekigambo kino nti amaiso gange gakulukute amaliga emisana n'obwire so galeke okulekayo; kubanga omuwala w'abantu bange atamaite musaiza awagwirwemu ekituli kinene, ekiwundu kibbiibi inu dala. 18 Bwe nafulumira mu itale, kale, bona, abitiibwe n'ekitala era bwe bayingiire mu kibuga, kale, bona, abo abalwaire olw'enjala kubanga nabbi era n'o kabona batambulira mu nsi so babula kumanya. 19 Ogaaniire dala Yuda? emeeme yo yetamirwe Sayuuni? otusumitiire ki, so wabula bulezi bwo kutuwonya? Twasuubiranga emirembe, naye ne watabba bisa ebyaizanga; n'ebiseera eby'okuwonyezebwamu, kale, bona, okukeŋentererwa. 20 Ai Mukama, tuukirirya obubbiibi bwaisu n'obutali butuukirivu bwa bazeiza baisu: kubanga twakwonoonere. 21 Totutamwa olw'eriina lyo; tovumisya ntebe y'e kitiibwa kyo: ijukira, tomenya ndagaanu gye walagaine naife. 22 Mu nfeera gy'ab'amawanga mulimu ebiyinza okutonyesya amaizi? oba eigulu lisobola okuleeta enfunyagali? Ti niiwe iyo, Ai Mukama Katonda waisu? kyetwavanga tukulindirira iwe; kubanga iwe wabikolere ebyo byonabyona.