Ensuula 6

1 Mu mwaka kabaka Uziya mwe yafiirire naboine Mukama ng'atyaime ku ntebe, empanvu eyagulumiziibwe, n'ekirenge kye nga kiizula yeekaalu. 2 Baseraafi babbaire bemereire waigulu we: buli mumu yabbaire n'ebiwawa mukaaga; ebibiri yabibiikire mu maiso ge, n'ebibiri yabibiikire ku bigere bye, n'ebibiri yabibuukirye. 3 Omumu n'atumulira waigulu eri mwinaye ng'akoba nti Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama w'eigye: ensi yonayona eizwire ekitiibwa kye. 4 N'emisingi gy'emiryango ne gisiisikibwa olw'eidoboozi ly'oyo eyatumuliire waigulu, enyumba n'eizula omwoka. 5 Kaisi n'entumula nti Ginsangire! kubanga nfiire; kubanga ndi muntu wi munwa egitali mirongoofu, era ntyama wakati mu bantu ab'emimwa egitali mirongoofu: kubanga amaiso gange galabye Kabaka, Mukama ow'eggye. 6 Omu ku basseraafi n'alyoka abuuka n'ajja gye ndi, ng'alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto ne nnamagalo: 7 n'alikomya ku kamwa kange, n'ayogera nti Laba, lino likomye ku mimwa gyo; era obutali butuukirivu bwo buggiddwawo, n'ekibi kyo kirongoosebbwa. 8 Ne mpulira eddoboozi lya Mukama, nga lyogera nti Naatuma ani, era anaatugendera ani? Ne ndyoka njogera nti Nze nzuuno: ntuma nze. 9 N'ayogera nti Genda obuulire abantu bano nti Okuwulira muwulire naye temutegeera; n'ozulaba mulabe, naye temwetegereza. 10 Savuwaza omutima gw'abantu bano, era ggala amatu gaabwe, era ziba amaaso gaabwe; baleme okulaba n'amaiso gaabwe, n'okuwulira n'amatu gaabwe, n'okutegeera n'omwoyo gwabwe, n'okukyuka, okuwonyezebwa. 11 Kaisi nentumula nti Mukama wange, birituukya wa okubbaawo? N'airamu nti Okutuusya ebibuga lwe birizika nga wabula abityamamu, no mu nyumba nga mubula muntu ensi n'ezirikira dala, 12 era Mukama ng’aijulwire abantu ng'abatwaire wala, n’ebifulukwa nga bingi wakati mu nsi. 13 Era ekitundu eky'eikumi bwe kiribba nga kikaali kisigaire omwo, kiririirwa dala ate: ng'omumyuliru era ng'omuvule ekikolo kyagyo nga kisigaire, bwe gitemebwawo; kityo ensigo entukuvu niikyo ekikolo kyayo. Isaaya