Ensuula 13
1
Omugugu gw'e Babulooni Isaaya mutaane wa Amozi gwe yaboine.
2
Muwanike ebbendera ku lusozi olw'obweru, mubayimusirye eidoboozi, muwenye n'omukono, bayingire mu miryango egy'abakungu.
3
Ndagiire abawonge bange, niiwo awo, njetere abasaiza bange ab'amaani olw'obusungu bwange, abange abeenyumirirya n'amalala.
4
Oluyoogaanu lw'ekibiina ku nsozi ng'olweigwanga einene! oluyoogaanu olw'okuleekaana kw'obwakabaka obw'amawanga nga gakuŋaine! Mukama ow'eigye akuŋaanyirye eigye olw'olutalo.
5
Bava mu nsi y'ewala, ku nkomerero y'eigulu, Mukama n'ebyokulwanisya eby'okunyiiga kwe, okuzikirirya ensi yonayona.
6
Muwowogane; kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi luliiza ng'okuzikirira okuva eri Omuyinza w'ebintu byonabyona.
7
Emikono gyonagoyna kyegiriva giiririra na buli mwoyo gw'omuntu gulisaanuuka:
8
era balikeŋentererwa okusonsomolwa n'okubalagalwa kulibakwata; balirumwa ng'omukali alumwa okuzaala: baliwuniikirira bonka na boka; amaiso gaabwe galibba maiso g'o musyo.
9
Bona olunaku lwa Mukama lwiza, olukambwe, nga lulina obusungu n'ekiruyi; okuzikya ensi, n'okuzikirirya abalina ebibbiibi abaayo okubamalamu.
10
Kubanga emunyeenye egy'omu igulu n'ebibiina byagyo tebiryaka kwaki kwabyo: eisana lirizikizibwa ng'alivaayo, n'omwezi tegulyaka musana gwagwo.
11
Nzena ndibonererya ensi olw'obubbiibi bwabwe n'ababoni olw'obutali butuukirivu bwabwe; era ndimalawo ekyeju eky'abalina amalala, era ndiikaikanya okwenyumirirya kw'abo abatiisya.
12
Ndifuula omusaiza okubba ow'omuwendo okusinga ezaabu ensa omusaiza okusinga ezaabu ensa eye Ofiri.
13
Kyendiva ntengerya eigulu, n'ensi erisiisikibwa okuva mu kifo kyayo, mu busungu bwa Mukama ow'eigye, no ku lunaku olw'ekiruyi kye.
14
Awo olulituuka ng'empuuli ebbingibwa era ng'etama egibulaku musumba, balikyuka buli muntu okwira mu bantu b'ewaabwe iye, era baliiruka buli muntu mu nsi yaabwe iye.
15
Buli eyabonekanga yafumitibwanga; na buli eyawambibwanga yagwanga n'ekitala.
16
N'abaana baabwe abaibo balimenyerwamenyerwa mu maiso gaabwe; enyumba gyabwe girinyagibwa, n'abakali baabwe balikwatibwa lwa maani:
17
Bona, ndibaleetaku Abameedi, abataliteekayo mwoyo eri efeeza, n'ezaabu tebaligisanyukira.
18
N'emitego gyabwe girimenyaamenya abavubuka so tebalisaasira izaire ly'e kida; eriiso lyabwe teririsonyiwa baana batobato.
19
Ne Babulooni, ekitiibwa eky'obwakabaka, obusa obw'amalala ag'Abakaludaaya, kiribba nga Katonda bwe yaswire Sodomu ne Gomola.
20
Tekiisulibwengamu enaku gyonagyona, so tekiibbeerwengamu emirembe n'emirembe: so n'Omuwalabu taasimbegayo weema; so n'abasumba tebaagalamiryengayo nbuli gyabwe.
21
Naye ensolo endalu egy'omu idungu niigyo gyagalamirangayo; n'enyumba gyabwe girizula ebintu ebisinga; na bamaaya baabbangayo, n'ebye zigeye byakiniranga eyo.
22
N'emisege gyakungiranga mu bigo byabwe, n'ebibbe mu manyumba gaabwe ag'ebinyumu: n'ekiseera kyakyo kiri kumpi n'okutuuka, so n'enaku gyakyo tegiritumulwaku.