Okuva Ensuula 28

1 Era weesembererye gy'oli Alooni mugande wo, n'abaana be wamu naye, mu baana ba Isiraeri, ampeererye mu bwakabona, Alooni, Nadabu, no Abiku, Eriyazaali no Isamaali, abaana ba Alooni. 2 Era olimukolera Alooni mugande wo ebivaalo ebitukuvu olw'ekitiibwa n'olw'obusa. 3 Era olibakoba bonabona abalina omwoyo ogw'amagezi, be naizwirye omwoyo ogw'amagezi, bakole ebivaalo ebya Alooni okumutukulya, ampeererye mu bwa kabona. 4 Bino nibyo ebivaalo bye balikola; eky'omu kifubba, n'ekanzo, n'omunagiro, n'ekizibawo eky'akatimba, ekiremba, n'olukoba: era balibakolera ebivaalo ebitukuvu Alooni mugande wo, n'abaana be, ampeererye mu bwakabona. 5 Era balitwala ezaabu eyo, ne kaniki, n'olugoye olw'efulungu, n'olumyofu, nebafuta. 6 Era balikola ekanzu ne zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'efulungu, n'olumyofu, ne bafuta erangiibwe, omulimu gw'omukozi ow'amagezi. 7 Eribbaaku eby'oku bibega bibiri ebigaitibwe ku nkomerero gyayo eibiri; egaitibwe wamu. 8 N'olukoba olulangiibwe n'amagezi, oluli ku iyo okugisiba, lulyekankana n'omulimu gwayo, lwo lugoye lumu; olwe zaabu, olwa kaniki, n'olugoye olw'efulungu, n'olumyofu, ne bafuta erangiibwe. 9 Era olitwala amabbaale mabiri aga onuku, n'oyolaku amaina g'abaana ba Isiraeri: 10 amaina gaabwe mukaaga ku ibbaale erimu, n'amaina gaabwe mukaaga abasigaireyo ku ibbaale ery'okubiri, nga bwe bazaaliibwe. 11 Mu mulimu gw'omusali w'amabbaale, ng'okuyola okw'oku kabonero, bw'olyola amabbaale amabiri, ng'amaina g'abaana ba Isiraeri: oligeetooloolya amapeesa age zaabu. 12 Era oliteeka amabbaale amabiri ku by'oku bibega eby'ekanzo, okubba amabbaale ag'okwijukirya eri abaana ba Isiraeri: era Alooni alisitula amaina gaabwe mu maiso ga Mukama ku bibega bye ebibiri ng'ekijjukiryo. 13 Era olikola amapeesa age zaabu: 14 n'emikuufu ibiri egya zaabu ensa; ng'emigwa bw'oligikola, mu mulimu ogulangibwa: era olisiba emikuufu egirangiibwe ku mapeesa. 15 Era olikola eky'omu kifubba eky'omusango, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi: ng'omulimu ogw'ekanzo bw'olikikola; ekye zaabu, ekya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyofu, ne bafuta erangiibwe, bw'olikikola. 16 Kiryekankana enjuyi gynagyona, ekifunyemu; kiribba luta obuwanvu bwakyo, n'oluta obugazi bwakyo. 17 Era olikitonamu amabbaale ag'okutona, enyiriri ina egy'amabbaale: olunyiriri olwa sadio, topazi, ne kabunkulo niilwo lulibba olunnyiriri olw'oluberyeberye; 18 n'olunnyiriri olw'okubiri lya nawandagala, safiro, ne alimasi; 19 n'olunnyiriri olw'okusatu yakinso, ne sebu, ne amesusito; 20 n'olunnyiriri olw'okuna berulo, ne onuku, ne yasipero: galyetooloolebwa zaabu we gaatonebwa. 21 N'amabbaale galibba ng'amabbaale g'abaana ba Isiraeri; eikumi n'ababiri, ng'amaina gaabwe; ng'okuyola okw'oku kabonero, buli muntu Ng'eriina lye, galibibbeerera ebika eikumi n'ebibiri. 22 Era olikola ku ky'omu kifubba emikuufu ng'emigwa, egy'omulimu ogulangibwa ogwa zaabu ensa. 23 Era olikola ku ky'omu kifuba empeta ibiri egya zaabu, n'ogiteeka empeeta eibiri ku nsonda ibiri egy'eky'omu kifubba. 24 Era oliteeka emikuufu ibiri egirangiibwe egye zaabu ku mpeta eibiri ku nsonda egy'eky'omu kifubba. 25 N'enkomerero eibiri egindi egy'emikuufu egirangibwa eibiri oligiteeka ku mapeesa mabiri, n'ogateeka ku by'oku bibega eby'ekanzo, ku luuyi lwayo olw'omu maiso. 26 Era olikola empeta ibiri egya zaabu, n'ogiteeka ku nsonda gyombiri egy'eky'omu kifubba; ku mbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekanzo munda. 27 Era olikola empeta ibiri egya zaabu, n'ogiteeka ku by'oku bibega ebibiri eby'ekanzo wansinsi, ku luuyi lwayo olw'omu maiso, kumpi n'olukindo lwayo, waigulu w'olukoba olw'ekanzo olulangibwa n'amagezi. 28 Era balisiba eky'omu kifubba n'empeta gyakyo n'empeta egy'ekanzo n'akagoye aka kaniki, kibbe ku lukoba olw'ekanzo olulangiibwe n'amagezi, era eky'omu kifubba kireke okusumululwanga ku kanzo. 29 Era Alooni yasituliranga amaina g'abaana ba Isiraeri mu ky'omu kifuba eky'omusango ku mwoyo gwe, bw'eyayingiranga mu watukuvu, olw'okwijukirya mu maiso ga Mukama enaku gyonagyona. 30 Era oliteeka mu ky'omu kifubba eky'omusango Ulimu ne Suminu; era byabbanga ku mwoyo gwa Alooni, bw'eyayingiranga mu maiso ga Mukama: na Alooni yasituliranga omusango gw'abaana ba Isiraeri ku mwoyo gwe mu maiso ga Mukama enaku gyonagyona. 31 Era olikola omunagiro ogw'omu kanzo gwonagwona gwe kaniki. 32 Era gulibba n'ekituli wakati waagwo eky'omutwe: gulibba n'olukugiro olw'omulimu ogulangibwa okwetooloola ekituli kyagwo, ng'ekituii eky'ekizibawo eky'ekyoma, guleke okukanulibwa. 33 Era ku birenge byagwo olikolaku amakomamawanga aga kaniki, n'ag'efulungu, n'ag'olumyofu, okwetooloola ebirenge byagwo; n'endege egya zaabu wakati waago okwetooloola: 34 endege eya zaabu n'eikomamawanga, endege eya zaabu n'eikomamawanga, ku birenge eby'omunagiro okwetooloola. 35 Era gwabbanga ku Alooni okuweerereryamu: n'eidoboozi lyagwo lyawulirwanga bw'eyayingiranga mu watukuvu mu maiso ga Mukama, era bw'eyafulumanga, aleke okufa. 36 Era olikola akapande aka zaabu ensa, n'oyolaku, ng'enjola egy'akabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA. 37 N'okateeka ku kagoye aka kaniki, era kanaabbanga ku kiremba; ku luuyi olw'omu maiso olw'ekiremba niikwo kwe kaabbanga. 38 Era kaabbanga ku kyeni kya Alooni, ns Alooni yasitulanga obubbiibi bw'ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye batukulyanga mu birabo byabwe byonabyona ebitukuvu; era kabbanga ku kyeni kye enaku gyonagyona, kaisi baikirizibwe mu maiso ga Mukama. 39 Era oliruka ekizibawo eky'akatimba ekya bafuta ensa, era olikola ekiremba ekya bafuta ensa, era olikola olukoba, omulimu ogw'omudaliza. 40 Era abaana ba Alooni olibakolera ebizibawo, era olibakolera enkoba, n'obakolera n'enkofiira, olw'ekitiibwa n'olw'obusa. 41 N'obiteeka ku Alooni mugande wo, no ku baana be awamu naye; n'obafukaku amafuta, n'oizulya emikono gyabwe, n'obatukulya, kaisi bampeereryenga mu bwakabona. 42 Era olibakolera seruwale gyo lugoye okubiika ku mubiri ogw'obwereere bwabwe; giriva mu nkeende okukoma mu bisambi: 43 era gyabbanga ku Alooni, no ku baana be, bwe bayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, oba bwe basembereranga ekyoto okuweererya mu watukuvu; baleke okusitula obubbiibi, n'okufa: kyabbanga kiragiro emirembe gyonagyona eri iye n'eri eizaire lye eririmwiririra.